Amawulire
Ab’eButambala bocezza emmotoka y’ababbi
Bya Sadat Mbogo
Abatuuze ababadde abanyiivu ku kyalo Bukandaganyi-Kiryannyonza mu muluka gw’e Kitimba mu ggombolola y’e Kalamba mu district y’e Butambala, bakkidde emmotoka y’abgambobw okubeera ababbi nebajikumako omuliro neesaanawo n’abadde ajivuga n’akubwa bubi nnyo police yeemutaasizza.
Emotoka eno kika kya Toyota Noah number UAQ 696/R kigambibwa ababbi gyebabadde beeyambisa okubba ebisolo byabatuuze.
Akubiddwa ajjanjabibwa mu ddwaliro ly’e Gombe ku mpingu, nga banne 3 bwebabadd badduse.
Poliisi etegezezza ngokunonyereza bwekutandise.