Amawulire
Abébyóbulamu e Butaleja beeralikirivu olwendwadde ya Kafuba
BYA YAHUDU KITUNZI
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja, Mary Goretti Kitutu yeetonze mu lujjudde olw’okukyuusa amabaati agaali gagenderedwamu okuyamba abantu abawejjere abali mu kitundu kino.
Kitutu yeetonze bwabadde alabiseeko mu kakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga omulundi ogw’okubiri.
Agambye nti teyalungamizibwa bulungi ku butya bweyalina okugabamu amabaati gano.
Kitutu okwetonda kiddiridde alipoota eyafulumiziddwa gyebuvuddeko okulaga nti amabaati, okuweebwa abantu be Karamoja yagagabana na banene mu gavumenti omuli ne baminisita.
Akakiiko kasuubirwa okuteesa ku ngeri y’okutangira ebikolwa ebifaananako bwe bityo okudamu okubaawo mu biseera eby’omu maaso n’okuvunaana abavunaanyizibwa.