Amawulire
Abébyóbulamu e Mubende baggadde eddwaliro eribadde lijanjaba abagambibwa okuba ne Ebola
Bya Barbara Nalweyiso,
Akakiiko akavunanyizibwa kukulwanyisa ekirwadde kye Ebola mu disitulikiti y’e Mubende nga bali wamu n’akakiiko k’ebyokwerinda mu disitulikiti basazeewo okuggala clinic ku kyalo Kirungi mu munisipaali y’e Mubende ekibadde kijjanjaba abantu abateeberezebwa okuba abalwadde ba Ebola.
Omubaka wa gavt mu disitulikiti y’e Mubende Resident Rosemary Byabasaija era nga yakulira akakiiko akalwanyisa Ebola e Mubende, agamba nti kino kigendereddwamu kukendeeza ku bulabe bw’okukwatibwa akawuka n’okukubiriza abantu abateeberezebwa okuba nga balina obulwadde buno okugenda mu bifo ebitongole ebijjanjaba.
Annyonnyola nti ku Ssande omukyala yafudde mu ddwaaliro rya life care medical clinic oluvannyuma lw’okuvaamu omusaayi mu kamwa n’ennyindo.
Byabashaija ayongerako nti newankubadde eddwaliro lino lisangibwa kumpi n’eddwaliro lya gavumenti erya Mubende regional referral hospital abasawo balemereddwa okusindika omulwadde ku mu kifo ekituufu okujanjabwa.
Kati akakiiko kano kayise olukiiko olw’amangu olw’abakulembeze b’ebitundu, abaddukanya takisi n’abakulembeze b’eddiini okwongera okuteesa ku ngeri y’okussa mu nkola enkola ez’okuziyiza Ebola.