Amawulire

Abébyókwerinda bakunonyereza kukutiisibwatiisibwa eri Ababaka

Abébyókwerinda bakunonyereza kukutiisibwatiisibwa eri Ababaka

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Ebitongole by’eby’okwerinda bikwataganye okunonyereza ku bbaluwa eyawandikibwa abasirikale wansi wekibiina ki Tired Officers in Uniforms – Uganda (Afon) eyaweereddwa omubaka omukyala, owa Mityana district, Joyce Bagala nga bamusaba abawe obukadde 10 obwensimbi mu nnaku 3 oba si ekyo bakumukuba amasasi 4.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru omwogezi wa poliisi mu ggwanga , Fred Enanga ategeezezza nti ekibiina kino ekirimu abaserikale b’amagye n’aba poliisi kigambibwa nti kyatiisizza Palamenti n’abakola amateeka okukwata ensonga zaabwe ezibaruma nge kikulu bwebaba bagala okusigala nga balamu.

Agamba nti mu bbaluwa yaabwe, baasabye Palamenti okusiima obuweereza bwabwe nga balongoosa embeera gye bakolera, obulamu obulungi n’okubongeza omusaala.

Wabula Poliisi egamba nti ebbaluwa eno ekyagyetegereza.