Amawulire
Abebyokwerinda banenyezebwa olw’obulagajjavu
Bya Ritah Kemigisa
Abakugu mu byokwerinda, obulumbaganyi bwabatujju abakubye bbomu e Komamboga omwafirirdde omuntu omu, nabalal nebalumizibwa bakitadde ku kulagajala kwabakuuma ddembe.
Kati wabaddewo okubwatuka okulala ku Bus e Lungala, mu disitulikiti ye Mpigi ngeno omuntu omu yeyafudde.
Bwabadde ayogerako naffe Dr Solomon Asiimwe, omusomesa webyokwerinda ku ttendekero lya Nkumba University agambye nti okulagajjala kubadde kwamaanyi, ngesssira okusinga litereddwa ku kulwanyisa ssenyiga omukambwe.
Ono agambye nti nabantu tebamanyisiddwa kimala ssinga babeera bekengedde, nga betaaga okusomesebwa.
Abajambula aba Islamic state baavuddeyo nebakakasa nti bebabadde emabega wobutujju buno.
Wabula omwogezi wamagye Brig Gen Flavia Byekwaso agambye nti ssi kyabwenkanya okunenya abebyokwerinda ku buli ekibeera kiguddewo mu gwanga.
Brig Gen Byekwaso abadde awayaamu ne banaffe aba KFM akwungeezi akayise, ngagambye nti nabantu banenyezebwa olwokumenya amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Agambye nti ngabakuuma ddembe bakola kyonna ekisoboka okukuuma bannaYuagnda era awadde obweyamu nti baakuwangula ebikolwa byobutujju.