Amawulire
Abébyókwerinda e Moroto bataddewo amateeka amakakali ku basuubuzi b’ente mu kitundu ekyo
Juliet Nalwooga. Poliisi mu bendo bendo lyé Moroto ekendeezezza ku bungi bwámakubo agabadde gayitwamu abo abasuubula ente mu kitundu ekyo nékigendererwa ekyókukendeeza obubbi bwebisolo.
Kino kyakwanguyiriza abakuuma dembe okwekebejja buli motoka ettisse ebisolo efuluma ekitundu ekyo.
Mike Longole nga yayogerera poliisi mu bitundu byé Moroto, agamba nti wabaddewo enkola yóbunyazi bwénte okuva mu butale obwénjawulo oluvanyuma ezitikkibwa ku motoka nezifulumizibwa mu butale obuli wabweru wa Karamoja.
Kati motoka zonna ezettise ente nga ziva mu district okuli ey’e Amudat, Nakapiripirit, ne Nabilatuk zirina kuyitira ku luguudo oluva e Nakapiripirit – Moroto.
Ebiwandiiko ebikwata ku bisolo ebyo byakwekebejjerwa ku kifo ekimanyiddwa nga Nadunget oluvanyuma mtoka zilyoke zegatte ku luguudo oluva e Moroto- Soroti olwo zifulume.
Motoka zonna ezitambuza ebisolo nga ziva Kaabong ne Kotido kijja zikakatako okukozesa oluguudo oluva e Kaabong – Kotido -Moroto.
Abali mu mulimu gwóbusuubuzi bwénte bawereddwa amagezi okugoberera endagiliro esaliddwawo okwewala okutataganyizibwa.