Amawulire
Ab’ewa kisekka bagenze mu kkooti-bawakanya akatale kaabwe okumenyebwa
Abasuubuuzi abakolera mu katale ak’ewa Kiseka basazeewo kuddukira mu kooti enkulu , nga baagala eyimirize entakateeka zokubasengula mukatale kano akagenda okuddabirizibwa , nga tebabalaze waakulaga.
Bano nga bakulembedwamu Asadi Bukenya ne Ali Masembe basazeewo okuwawabira abaddukanya akatale kano, nga bagamba nti banyoomode obwesigwa bwebabateekamu, bwebaazeewo okubasindiikiriza obutasukka nga 31st December, olwemirimo gyokuddabiriza akatale egigebnda okutandika .
Bano naddala abatunda sipeeya w’emmotoka bagamba nti singa emidaala gyabwe gimenyebwa, abasinga bagenda kusigala nga tebakina wakukolera
omusango guno gutandise leero okuwulirwa omuwandiisi wa kooti Festo Nsega , wabula nabasaba bakomewo olw’egulo lw’enkya