Amawulire
Abobuyinza e Kassanda bagala kuteekawo kaafyu mu kwerinda Ebola
Bya Mike Sebalu,
Abakulembeze mu Disitulikiti y’e Kassanda batandise okulowoozezza kukyokussaawo kaafyu okukendeeza ku ntambula y’abantu okuva mu disitulikiti y’e Mubende ewagudde olunabe lwe Ebola okuyingira Kassanda.
Okusinzira ku Ssentebe wa disitulikiti ye Kasanda abantu bangi ababadde bava e Mubende okudda e Kassanda okwengiyira mu bizinensi yokusubula zaabu ekintu ekibateeka mu matiga mu kaseera kano akobulwadde.
Ono bwatyo ayise akakiiko ke akafuzi aka disitulikiti okusalawo ku mitendera gy’erina okukwata, okukuuma disitulikiti ng’embeera tennava tenasajjuka.