Amawulire

Ab’oludda oluvuganya gavumenti abasoba mu 100 besozze NRM

Ali Mivule

February 20th, 2015

No comments

SS

E Lira ebikumi n’ebikumi by’abawagizi b’ebibiina ebivuganya gavumenti basaze eddiiro nebegatte ku kibiina ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement.

Bano okusinga baabulidde bibiina bya FDC ne UPC nga era balangiridde mu lukungaana pulezidenti Museveni lw’akubye mu tawuni ye Lira.

Abamu bategezezza nga bwebasaze eddiiro olwo’bwavu obubwesibyeko nga olukokobe ssaako n’obuvuyo obutata mu bibiina gyebabadde.

Yye omukulembeze w’eggwanga ayanirizza abantu bano n’asaba ne bannakibiina okukola kyekimu okuggumiza ekibiina.