Amawulire

Abóludda oluvuganya mbanjiza embalirira yéggwanga eyabwe

Abóludda oluvuganya mbanjiza embalirira yéggwanga eyabwe

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Aboludda oluvuganya gavt mu palamenti leero basomye embalirira yabwe gye basuubira nti gavt eri mu buyinza gyeyalyesigamyeko okuteekeratekeera eggwanga mu mwaka gwe byensimbi ogujja 2023/24.

Bano bawabudde nti mu kifo kya gavt okwagala okusasanya obusee 49 nobuwumbi 900 esannye esale ensimbi zino okudda ku busse 48 nobuwumbi 900 nga egyamu mu mbalirira ebintu ebitetagisa byebadde eyagala okusasanyizako ensimbi.

Bwabadde asoma embalirra eya boludda oluvuganya, akulira oludda oluwabula gavt mu palamenti, Mathis Mpuuga awabudde gavumenti enkola eya Parish Development Model (PDM) egibweewo nga agamba nti yatekebwawo kubwebweneramu nsimbi za muwi wa musolo nga abaavu abogerwako okuganyulwa muyo tebagenda gifunamu.

Mpuuga ayagala ensimbi gavumenti zeyagala okuteeka mu PDM eziteeka mu byokufukirira ebirime, okutuusa ebikozesebwa mu kulima nókulwanyisa endwadde ezirumba ebirime.