Amawulire
Ab’omu kisenyi ssibakusengulwa
Ekitongole kya Kampala capital city authority kiyimirizza eby’okusengula abantu ababeera n’okukolera mu kisenyi
Bino bituukiddwaako mu Lukiiko wakati w’abakulembeze mu KCCA, amyuka omubaka wa pulezidenti mu kibuga ,Allan Kajik n’ababeera mu Kisenyi
Akulira abakozi ku ggombolola y’omukulu w’ekibuga Catherine Musingwire agambye nti bakusooka kumalawo kusika muguwa okuliwo ku ttaka lino nga tebannasengula bantu.
Wabula ono agambye nti bataddewo amateeka agalina okugobererwa abo ababeera mu kitundu kino okukuuma obuyonjo n’eby’okwerinda
Wabula bbo ab’omu Kisenyi basigaddemu akakunkuna nga bagamba nti ensonga eno bagaala KCCA egiviireko ddala