Amawulire
Adam Kalungi ayimbuddwa- Talina musango
Eyali muganzi w’omubaka omugenzi Cerina Nebanda ayimbuddwa.
Kkooti enkulu mu kampala ng’ekubirizibwa Lameck Mukasa ejjeeko Kalungi emisango egyaali gimusingisiddwa era n’ayimbulwa
Omulamuzi agambye nti Kalungi ssi musawo nti yeeyalina okujjanjaba Nebanda ate ng’era yakola kyonna ekisoboka okutaasa obulamu bwe naye nebigaana
Mukasa agamba nti akalwaliro awasooka okutwalibwa Nebanda keekakola ensobi okuwa Nebanda eddagala ekyaamu
Kalungi yasooka kusingisibwa omusango gw’okutta Nebanda mu butanwa era n’asibwa emyaka ena.
Yye gwebabadde bavunaanibwa naye Omar Ali asigadde ku kibonerezo ky’omwaka omulamba lwakukozesa njaga.