Amawulire
Afudde nguuli
Omusajja ategerekeseeko erya Mucunguzi afiiridde mu mpaka z’okunywa waragi
Bino bibadde ku kyaalo Kajju mu disitulikiti ye Rakai
Ono yakayaanye ne banne nti asobola okunywa liita za Waragi 3 mu ddakiika ttaano.
Nanyini baala eno Dorothy Namatovu agambye nti omusajja ono kituufu waragi yamunwedde mu ddakiika ezitawera ttano kyokka olw’amazeewo bw’ati n’akondoka n’agwa eri
Ono bamuddusizza mu ddwaliro kyokka nga byonna kusiba bikutuka
Aduumira poliisi ye Rakai Francis Tumwesigye akakasizza amawulire gano n’ategeeza ng’okunonyereza bwekutandise
Mu bakwatiddwa kwekuli ne nnanyini baaka nebeyabadde nabo mu mpaka