Amawulire
Afumbye omwana we
Poliisi ye Moroto etandise okunonyereza ku bigambibwa nti waliwo maama eyatokosezza omwanawe muntamu n’amutta ku kyalo Nakapelimen .
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Moroto John Omwony agamba baasindise dda basajja baabwe okuyigga kalittima ono akyaliira ku nsiko.
Poliisi yatuuse ewabadde enjego eno n’esanga nga omulambo gw’omwana ono nga yenna eddiba kumpi tekuli oluvanyuma lw’okufumbibwa mu ntamu.
Yye Meeya wa municipaali eno Aex Lemu kino agamba abakyaala basaanye okukomya omuze gw’okutta abaana baabwe.