Amawulire

Agambibwa okuba omuyekera wa ADF yeganye ebikolwa byóbutujju

Agambibwa okuba omuyekera wa ADF yeganye ebikolwa byóbutujju

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Munna-Uganda eyasibwako mu kkomera lya Guantanamo Bay ngavunanibwa okubeera omuyekera era omutujju wa Allied Democratic Forces (ADF) yegaanye emisango egimuvunanibwa mu kooti ya Buganda Road.

Jamal Kiyemba owemyaka 43 amanyiddwa nga Tonny yaletebwa mu kooti wiiki ewedde mu maaso gomulamuzi Dr Darglas Singiza natamuganya kubaako kyanyega, kubanga emisango egimuvunanibwa nti gyanaggomola egirina okuwulirwa kooti enkulu yokka.

Wabula munnamateeka womuvunaanwa Geoffrey Turyamusiima yawakanya ebigambo byomuamuzi nagamba nti obutujju ssi musango gwa naggomola.

Jamal era Imam ku muzikiti gwa Masjid Taqua e Kirimanyaga mu Makindye Ssabagabo wano mu Kampala.

Ebimwogerwako, yava mu gwanga ne famile ye nagenda e Bungereza mu 1993 ku myaka 14 gyeyasomera ebyeddala gyebamukwatira nebamusibira mu kkomera e Cuba.

Yoomu ku basibe 6 abaali mu kkomera lya Quatonamal Bay abayimbulwa mu mwaka gwa 2006 nebabakomyawo mu gwanga.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joan Keko bagamba nti wakati wa 2021 ne January 2022, omuvunaanwa Kiyemba yakiriza okubeera memba wa ADF era okubeera omutujju.

Baamukwatira mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo nebamukomyawo e Kampala.