Amawulire

Agambibwa okubba embuzi yetuze

Agambibwa okubba embuzi yetuze

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Agambibwa okuba omubbi wémbuzi mu disitulikiti yé Buyende, yetuzze oluvanyuma lwokutoloka ku batuuze ababadde bagala okumugajambula.

Omugenzi ye Mohammed Muyimba nga mutuuze wé Busamo mugombolola yé Ngando mu Buyende district.

Ssentebe wékyalo kino Paul Mwandha, atubuulidde nti omugenzi yasangibwa abaaga embuzii enzibe wabula yasobodde okwesimatula ku batuuze nadduka.

Wabula abatuuze kibawedeko ate bwebasanze Muyimba nga yetugidde ku muti.