Amawulire

Agambibwa okutta bbaawe bamwejerezza

Agambibwa okutta bbaawe bamwejerezza

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ejjulirwamu yegyerezza Diana Nabbengo Luttu eyali manager ku kitongole kya Public Procurement and Disposal of Assets, emisangoi gyobutemu.

Nabbengo nga 17 April 2020 kooti wansi womulamuzi Jane Frances Abodo, yamusingisa omusango gwobutemu nasibwa emyaka 23 emyezi 9 nennaku 3.

Ono oludda oluwaabi lubadde lugamba nti nga 24 August mu 2016 e Kazo Lugoba mu Kawempe yatemula baawe Hannington Musaasizi Asiimwe.

Omuvunaanwa teyamatira ne nnamula ya kooti enkulu, kwekujulira era kooti yalamudde nti baamusingisa omusango gwobutemu mu bukyamu.

Abalamuzi okubadde Egonda Ntende, Catherine Bamugemereire ne Christopher Madrama bagambye nti kooti eyasooka teyetegereza bulungi obujulizi obwaltebwa.