Amawulire
Agudde mu kidiba- poliisi esse omubbi
Poliisi etandise kawefube w’okuyigga omulambo gw’omusajja agudde mu kidiba ky’amazzi e Kalule Luweero
Omusajja ono abadde anaaba n’asereera nagwa mu mazzi era bw’atyo n’abbira
Aduumira poliisi y’omu bitundu bya Savannah Musa Nabende agamba nti bamaze okuyita abaziinya mooto okuyambako
Amasasi ganyoose e Kasana Luweero nga poliisi yeezooba n’ababbi.
Mu kavuvungano omubbi omu attiddwa n’abalala nebalumizibwa.
Omwogezi wa poliisi erudda eno, Lameck Kigozi agamba abazigu bano basangiddwa n’akawanga k’omuntu nga n’omu ku bakwatiddwa musawo wa kinnansi.