Amawulire
Akabenje e Busega
Abantu 16 bafunye ebisago bya maanyi mu kabenje akagudde e Busega.
Akabenje kano keetabidddwaamu motoka pickup double cabin ne’kimotoka kya canter.
Abakoseddwa bonna bava mu maka gamu nga babadde bagenda mu kyaalo.
Omu ku bafuney ebisago, Amina Namuddu agamba nti dereeva wa canter emmotoka emulemeredde okukkakkana ng’ayingiridde double cabin yaabwe
Mu bali mu mbeera embi ddala kuliko Ramallah Nagayi, Adam Kirumila, and Amina Nanyonjo, Twaha Wasajja, Shifra Nalunkenge ne ki baby eky’emyezi 3