Amawulire
Akabenje e Kalungu kasse omu, 57 banyiga biwundu
Bya Gertrude Mutyaba,
Poliisi e Kalungu etandise okunonyereza ku kyavirideko akabenje akagudewo olunaku lwegulo omwafiridde omuntu omu na balala 57 ne babuuka ne bisago.
Kino kiddiridde bbaasi nnamba UBA 293F eyabadde eva Kampala okudda e Mbarara okutomera Tuleela eyabadde eva e Masaka ng’edda Kampala.
Bino byabadde Kabaale-Bugonzi mu disitulikiti y’e Kalungu ku ssaawa nga 8:30.
Omumyuka w’omuduumizi wa poliisi mu kitundu kino Jamada Wandera akakasizza akabenje kano n’ategeeza nti ddereeva wa bbaasi eyategeerekeseeko erya Francis Twine yadduse oluvannyuma lw’akabenje kano.
Omu ku baasimattuse, Justus Arinaitwe ategeezezza nti ddereeva yabadde avuga sipiidi ate ng’ayisa Tuleela mu kkoona.
Abatuuze basabye abaserikale b’ebidduka okubayambako okulung’amya amateeka g’ebidduka nga bagamba nti mmotoka zino zisukkiridde sipiidi enkuba ne bw’eba etonnya.
Abaakosebwa akabenje mu kiseera kino bafuna obujjanjabi mu ddwaaliro lya Masaka regional referral hospital.