Amawulire

Akabenje kasse 2 e Kyotera

Ali Mivule

May 29th, 2014

No comments

accidet mabira

Abantu 2 bafiiridde mu kabenje k’emmotoka akagudde ku kyalo  Nongo ku luguudo oluva e  Kyotera-Kalisiizo.

Abagenzi bategerekese nga  Paul Walusimbi okuva mu district ye Rakai  ne  Julius Akwatampola ow’emasaka.

Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti abagenzi babadde batambulira ku pikipiki ekimotoka kilukulurana nekibasaabala.

Bagamba nti bano babadde bayise mmotoka ya Premio eno gyebagwiridde ku ki tuleera ekibattiddewo.

Ayogerera poliisi mu kitundu kino Noah Sserunjogi agamba nti akabenje kano kavudde ku kuvugisa kimama ku ludda lw’ababadde ku Bodaboda