Amawulire
Akabenje kasse babiri
Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akeetabiddwaamu kooki ebadde eva e Nairobi ng’edda e Kigali
Abafudde babadde ku baasi eno ng’omu ye Kango, abadde agivuga era munnansi wa Tanzania n’omukyala atategerekese
Atwala poliisi ekola ku bidduka e Rwizi Patrick Mungasa agamba nti dereeva ono kirabika yabadde akooye nga baasi yamulemedde n’eva ku luguudo olwo neyevulungula emirundi egiwera
Abantu abalala munaana beebafunye ebisago nga bajjanjabibwa ku ddwaliro lye Mbarara.
Mungasa asabye ba dereeva bano obutakaka ngendo nga bakooye