Amawulire

Akabenje ke Lyaato-Emirambo gisindikiddwa e Congo

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

Boat race

Oluvanyuma lw’akabenje k’eryato ku Nyanja ya Albertomwafiiridde abanonyi b’obubudamu abacongo abasoba mu 100 abaabadde badda ewabwe, gavumenti  eyongedde amaanyi nobwegendereza mu kuzza abacongo bano okwabobwe.

Minister w’ababundabunda n’ebigwa tebiraze Hillary Onek agamba bategese ensisinkana n’abekitongole ky’ekibiin ky’amawanga amagatte ekikola ku babundabunda balabe engeri gyebayinza okuzza abacongo bano ku butaka okwewala abo abatoloka mu nkambi z’ababundabunda.

Ono era asambazze ebigambibwa nti embeera embi ey’enkambi zababundabunda yeyawalirizza abanoonyi b’obubudamu bano okuddukayo nti wabula bangi omwoyo gwewaka gwabalumye okudda ewabwe.

Onek agamba nti okunoonya bakawonawo kukyagenda maaso nga abanunulwa batwalibwa munkanbi ye Bukwanga so nga emirambo gitwalibwa congo oluvanyuma lw’okwekebejjebwa.