Amawulire
Akabenje ku Nyanja- Omuyiggo gukomye
Poliisi yokumazzi kyaddaaki esazizaamu kawefube w’okugezaako okunyulula emirambo gy’abantu 34 ababbira mu Nyanja Nalubaale ku sande ewedde.
Kigambibwa nti abantu abasoba mu 34 babulidde mu Nyanja eno oluvanyuma lw’eryato mwebabadde batambulira okubbira wakati w’ebizinga bye Kiziru ne Bulago.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’amiriraano Patrick Onyango agamba nti emirambo 6 gyebibadde gyakanyululwa n’abantu 28 nebanunulwa mu wiiki enamba nga poliisi egezako okutaasa abantu bano.
Ku baafudde kuliko n’omusirikale wa poliisi eyabidde bweyabadde agezaako okutaasa abenyumbaye nabo abaabadde ku lyato lino.
Akabenje kano kigambibwa nti kaavudde ku kutikka kabindo.