Amawulire

Akabenje mu Mabira-Kasse omu

Ali Mivule

October 16th, 2014

No comments

Bus accident

Omuntu omu y’afiiridde mu kabenje akagudde mu mabira ku luguudo lw’e Jinja oluvanyuma lwa kabangali y’ekika kya Toyata canter namba UAN 518A okutomeragana ne ki  lukululananamba  ZE 4687 nga kino kibadde kidda Jinja.

Bbyo eby’entabula bisanyaladde ku luguudo luno okumala akaseera nga abaserikale ba poliisi ye Lugazi bagezaako okugywawo ebipapajjo bya poliisi.

Mungeri yemu   bbo abantu abasoba mu 50 bawonedde watono okufa oluvanyuma lwa baasi mwebabadde batambulira okulemelera omugoba waayo  mu bitundu bye Nakasongola.

 

Baasi namba UAS 566U mwebabadde batambulira y’eyingiridde kiloole kino  16 nebalumizibwa , wabula 5 nga bali mu mbeera mbi nnyo ddala.

 

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino  Lamecka kigozi, agamba omugoba wa baasi eno yandiba nga abadde asumagira nga ate  baasi ebadde  efuumuka buweewo.

 

Agamba poliisi kati eri ku muyiggo gwa dereeva ono eyataddeko dda kakokola tondeka nyuma oluvanyuma lw’akabenje.