Amawulire

Akabondo ka NRM keekanasalawo ku bisiyaga-Museveni

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Museveni speaks

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga bw’agenda okwebuuza ku kabondo k’ababaka ba NRM ku nsalawo ya kkooti ku tteeka ly’ebisiyaga.

Olunaku lwajjo abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga  palamenti teyalina babaka bamala.

Abalamuzi era basazeewo nti ekikolwa kya sipiika  kyamenya ssemateeka wamu n’amateeka agafuga palamenti.

Bw’abadde ayogerako eri eggwanga, Museveni agambye nti tannaba kwetegereza nsalawo ya Kooti ku nsonga eno , wabula wakuyita akabondo b’ababaka ba palamenti  okuteesa ku nsonga eno.

Museveni era agambye nti ye yakola omulimu gwe okuteeka omukono ku teeka lino,era ngatalina buvunanyisibwa kumanya oba parliament teyalina babaka bamala.

Wabula Museveni agambye nti wadde nga kooti yasazeewo bwetyo,Uganda tegenda kutiisibwatiisibwa abagabi b’obuyambu kubanga wadde babadde babusaze eggwanga lisigadde likyakula.

Mungeri yeemu Museveni akubirizza bannayuganda okwenyigira mu nteekateeka ez’okubala abantu.

Museveni agambye nti okubala abantu kyakuyamba eggwanga okuteekerateekera abantu balyo wamu n’okumanya omuwendo omutuufu oguli mu ggwanga.

Museveni era asambye bannayuganda okwewala okwekwasa eby’obuwangwa mu kubala abantu.

Okubala abantu kwakutandika nga 28 omwezi guno okutuukira ddala nga mukaaga omwezi ogujja .

Enteekateeka eno egenda kumala ennaku 10 okwetoloola eggwanga lyonna