Amawulire

Akakiiko akanaakola ku mazaalibwa g’omutanda kalangiriddwa

Ali Mivule

January 23rd, 2015

No comments

KAbaka cuts cake 2

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi 11 alonze akakiiko k’abantu 7 akagenda okukulemberamu entekatekz z’amazalibwa ge ag’emyaka 60 egy’obuto.

Amazalibwa ga Ssabasajja gakuzibwa nga 13 omwezi ogw’okuna, mu Bulange e Mengo, era Ssabasajja wakukwasibwa ekizimbe kya Masengere, ekizimbibwa mu mbirizi za Bulange.

Okusinzira ku minister w’amawulire mu Bwakabaka Denis Walusimbi Ssengendo, akakiiko kano kakukulirwa minister w’enkulakulana mu Buganda Waggwa Nsimbirwa.

Abalala abali ku kakiiko kano kwekuli  minister Twaha Kawaase, Godfrey Kirumira, Emmanuel Katongole, n’abalala.

Walusimbi agambye nti wansi w’akakiiko kano watereddwayo obukiiko obulala okuli aky’ebyensimbi, ak’ebyobulamu n’obulala obugenda okuyamba mu kutegeka emikola gyona.

Emikolo gyino gyakukulemberwa emisinde egy’okutolontoka ebyalo egyimanyiddwa nga Kabaka’s birthday run.