Amawulire
Akakiiko ka NCHE kakkiriza okuwera enkozesa yékigamba kya Amasomo agagwako
Bya Damali Mukhaye,
Akakiiko akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza ebya waggulu mu ggwanga, aka NCHE kakkirizza okuggyawo enkozesa y’ekigambo amasomo agaggwako mu byenjigiriza mu matendekero aga waggulu, nga bwe balindirira okumaliriza okudamu okwetegereza amasomo agategezebwa nti gagwako naye nga Yunivasite námatendekero amalala gabadde gakyagasomesa abayizi, ekyavaako okweraliikirira kwa bannauganda
Akakiiko kano nga kakubirizibwa Prof Eli Katunguka, omumyuka wa Ssenkulu wa yunivasite y’e Kyambogo kigambibwa nti katuuse ku kusalawo kuno mu lukiiko olwatudde akawungeezi akayise.
Wabula tekinnategeerekeka oba olukiiko lwakkirizza okukyusa amannya gámasomo z’ebyenjigiriza agalowoozebwako.
Eggwanga lyatekebwa ku bunkenke omwezi oguwedde era abatikkirwa ne babuusabuusa obwesige bw’ebiwandiiko byabwe eby’ensoma oluvannyuma lwa Yunivasite y’e Bristol mu Bungereza n’amatendekero amalala mu Bulaaya ne Amerika okugaana empapula zóbuyigiriza eri abayizi be Uganda abalina digiri mu masomo agenjawulo, bwebateeza nti byebasoma byayitako okusinzira ku mawulire agaali ku mukutu gwa kakiiko ka NCHE ogwámawulire.