Amawulire

Akakiiko katandika okwetegereza ebbago lya NSSF ssabiiti ejja

Akakiiko katandika okwetegereza ebbago lya NSSF ssabiiti ejja

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2021

No comments

Bya prossy kisakye

Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa kunsonga zé kikula kya bantu na bakozi, kakutandika ssabiiti ejja omulimu ogwokudamu okwekenenya ebbago lye tteeka erikwata ku nsimbi za bakozi erya NSSF Bill.

Omukulembeze weggwanga Museveni yakomyawo ebbago lye tteeka lino mu palamenti nga ayagala ennongosereza zikolebwe mu kawayilo aka 24 akakwata ku kyomuteresi awezeza emyaka 45 okuweebwa 20% kunsimbi ze

Kati oluvanyuma lwa minisita omubeezi owabakadde, Dominic Gidudu Mafwabi, okwanja obugya ebbago lino mu palamenti mu ssabiiti eno, sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah yawadde akakiiko kekikula kya bantu ennaku 10 beetegereze ebbago lino, noluvanyuma banjulire palamenti alipoota ku bye batuuseko.

Sentebe wa kakiiko kano FLavia Kabahenda, agambye nti bakusooka nakusomesa babaka abagya ebiri mu bbago lino nga tebanayita abakungu okuva mu minisitule ye byensimbi babeeko byebataagngaza ku bumu kubuwayiro obuliko enkalu

Mungeri yemu Kabahenda ategezeza nti Bagala ne minisitule eye byensimbi ebanyonyole lwaki Bagala okusolooza omusolo kunsimbi za bateresi ezinabaweebwa ekitaali munnambika.