Amawulire

Akakiiko kebyenjigiriza ebya waggulu Kagadde ettendekero lya Great Lakes Regional University

Akakiiko kebyenjigiriza ebya waggulu Kagadde ettendekero lya Great Lakes Regional University

Ivan Ssenabulya

November 25th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Akakiiko akatwala ebyenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education (NCHE) bagadde ettendekero lya Great Lakes Regional University, mu disitulikiti ye Kanungu okumala omwezi mulamba.

Ensonga zebawadde, bagambye nti waliwo endoliito mubwannayini ku ttendekero lino nobukulembeze obubi, era kino baazudde nga kyandiretawo omutawaana nekikosa okusoma kwabayizi.

Ennaku 9 emabega, akakiiko kaali kaayimiriza amattikira gettenekero lino oluvanyuma lwentalo ezibadde zigaanye okukya wakati wabaliddukanya nabamu ku baalitandikawo.

Mu bbaluwa gyeyawandiise nga 23 Novemba ssentebbe owa NCHE, Prof Mary Okwakol, yalagidde amayuka ssnekulu wa Great Lakes Regional University, okukakasa nti abayizi, abasomesa nabakozi abalala baamuka ettendekero lino obutasukka nga 24 Novemva, lwerwabadde olunnaku lweggulo.

Prof Okwakol yagambye nti kino kitekeddwa okugobererwa, okusobola okubawa ekyanya bakole okunonyereza okwanamaddala ku nsonga zonna.

Wabula abayizi abali mu 600 bebabadde bakomyewo ku ttendekero, okusoma.

Ebiwayi bibiri okuli abatandisi baalyo Wilkins Honest Natukwasa alwanagana namyuka ssenkulu Dr Hamlet Mbabazi Kabushenga bombi bakayanira obwananyini.

Wabula omutandisi Wilkins Natukwasa agambye nti ekyokubayimiriza okusoma, tekibadde kyabwnekanya.

Agambye nti obutakanya kubwananyini, tekirin ngeri yonna gyekyakosezaamu okusoma kwabayizi