Amawulire

Akawumbi 1 n’omusobyo kekavudde mu Zakah

Akawumbi 1 n’omusobyo kekavudde mu Zakah

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ensimbi akawumbi 1, obukadde 164 nomusobyo, zikunganyiziddwa ekitongole kya House of Zakah mu ntekateeka yabaddu ba Allah okuwaayo, okujjuza empagi ey’okusatu eyobusiramu.

Sentebe wa House of Zakah nga ye mumyuka wa Supreme Mufuti wa Uganda Sheikh Muhamood Kibaate yalangiridde ensimbi zino, mu kufulumya alipoota ey’omwaka ogusoose wansi w’obukulembeze obugya.

Kati bawaddeyo sikaala 150 eri abayizi ba University okusomeramu Metropolitan University awatali kusasula nnusu yonna, atenga sikaala 300 zezigenda okugabwa omwaka guno.

Mu biralala bawaddeyo ebyuma ebyoza emmotoka, ebikola engatto, ebikozesebwa mu kubajja n’enkoko eziweze 900 ngentanadika, eri abantu.

Sheikh Muhamood Kibaate agambye nti okusinga omwaka guno nga House of Zakah essira balitadde nnyo ku byenjigiriza.

Yye Sheikh Ahmed Kusule ssentebe wa booda eddukanya ekitongle kino, agambye nti era bagenda kusimba nnto essira ku kulwanisa nobwavu mu bantu.