Amawulire

Akeediimo ka Taxi kayimiriziddwa- KCCA egonze

Ali Mivule

August 25th, 2014

No comments

people board govt cars

Abagoba ba Taxi bayimirizza akeediimo kaabwe.

Kiddiridde okutuuka ku kukkaanya ne KCCA kko ne poliisi nti akakiiko keebemulugunyaako aka TAPSCOM kayimirizibwe.

Omwogezi wa ba Dereeva Mustapha Mayambala agambye nti bagenda kutuusa amawulire ku ba dereeva bonna okudda ku mirimu

Aba Taxi bakedde kwediima era ku nguudo eziwera tekubaddeko Taxi ekisanyalazza eby’entambula.

Abataxi bano nno beemulugunya ku kakiiko akassibwaawo KCCA okuddukanya omulimu gwa TAXI aka Tapscom nga bagamba nti abakaliko babatulugunya n’okubowa emmotoka zaabwe awatali nsonga

Mu lukiiko olutudde, enjuuyi zitegeraganye nti Taxi zonna ezikwatiddwa zakuyimbulwa, ba dereeva abakwatiddwa leero nabo bayimbulwe, n’okunonyereza ku babadde batulugunya abantu kugende mu maaso.

Akakiiko ka bantu 20 katondeddwaawo okugoberera byonna ebituukiddwaako nga kati poliisi ne KCCA beebavunanyizibwa ku bya Taxi sso ssi Tapscom

Olukiiko luno lukubiriziddwa Gen Kale Kaihura.