Amawulire

Akulira poliisi attiddwa

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Serunjogi

Poliisi ye Lwebitakuli mu disitulikiti ye Ssembabule eri ku muyigo gwabatemu abase atwala poliisi ye Nakondo nebadduka n’emmundu ye.

Sgt Godfrey Japyem y’atiddwa mu kiro ekikeesezza olwaleero bweyabadde adda ewuwe nga ava okugula ebintu mu katawuni.

Japyem y’akubiddwa amasasi mu mugongo ne mukifuba n’oluvanyuma nebadduka n’emmundu ye.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kino  Noah Sserunjoji ategezezza nga omuyiggo gw’abatemu bano bwegutandise.

Okutta abaserikale ba poliisi n’okukulita n’emmundu zaabwe kufuuse baana baliwo mu ggwanga nga 4 bebatibwa omwaka oguwedde.