Amawulire

Alipoota ku bubenje mu Kampala efulumye, Bweyongedde

Alipoota ku bubenje mu Kampala efulumye, Bweyongedde

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ki Kampala Capital City Authority kifulumizza alipoota y’omwaka ekwata ku nkozesa y’amakubo mu Kampala ng’elaga nti omuwendo gw’abantu abafiira mu bubenje ku makubo gweyongera n’akatunda kalamba ku 100.

Akoze omukolo gw’okutongoza alipoota eno ku City Hall mu Kampala Stellah Namatovu ategeezeza nga abantu 419 bwebaafa omwaka oguwedde bwobageragenranya ne 425 omwaka 2021.

Wabula omuwendo gw’abaafa gukendeddeko  okuva ku bantu 12 ku buli bantu emitwalo 10 bwegwali mu 2021 okuddqa ku bantu 11 n’obutundu 6 mu 2022.

Wabula gwo omuwendo gw’obubenje gweyongedde n’ebitundu 5 ku 100 bwogerageranya nwebgwali mu 2021.

Alipoota eyongera okulaga nti abakozesa enguudo mu Kampala okuli ab’ebigere, ab’obugaali, abaakozesa pikipiki wamu ne motoka baviirako abantu abakola ebitundu 94 okufiira mu bubenje mu Kampala omwaka oguwedde nga ebitundu 76 ku 100 basajja abali wakati w’emyaka 20-29 okutuuka ku 30-39.

Okusinziira ku alipoota, Motoka zokka zakola kyenkana obubenje obukunnukkiriza ebitundu 49 ku 100 nga okusinga zatomera nnyo abatambuza ebigere.

Namatovu atubuulidde nekubifo ebyasinga okufiiramu abantu nga kubino kuliko oluguudo lw’e Ntebe, Ggaba, okwo nga kwagasse enkulungo y’e Kisaasi-Naalya, Busega, Namuwongo gattako n e Gayaza.