Amawulire
Alipoota ya UMEME eriwa
Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga baagala sipiika wa palamenti afulumya alipoota y’akakiiko ka palamenti akaanonyereza ku mirimu gya kampuni y’amasanyalaze eya UMEME.
Bano bagamba nti ekitongole kino kiseera amasanyalaze eri banayuganda nga ate n’empeereza yakyo tematiza.
Ssentebe w’ekibiina kya anti- corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba UMEME eseera banayuganda amasanyalaze nga ate egatunda mu mawanga agaliranyewo ku beeyi eyawansi.
Anyonyola nti kinakuwaza okulaba nga munayuganda agula yuniti yamasanyalaze ku siringi 520 nga ate ku muliraano e Kenya ne Tanzania bagotera ku siringi 400 kyagambi nti ssikyabwenkanya.