Amawulire

Amabeere ga Bad Black gavunda

Ali Mivule

June 17th, 2014

No comments

bad black new

Mwana muwala Shanita namuyimbwa amanyiddwa nga Bad  Black ebibye bifuuse namulanda nga mabeere ga mbwa

Black azzeeyo mu kkooti ejulirwaamu ng’ayagala emuyambe ku mabeere agatandise okuvunda

Black yagenda nebamupika amabeere era ng’aba alina okudda mu ddwaliro negakolebwaako okumala ebbanga

Ng’ayita mu bannamateeka be aba Okello Oryem and company advocates, Black agamba nti ayagala kuddayo alongoosebwe kubanga bw’atakikole ajja kubeera mu bulabe bw’okufuna kokoolo w’amabeere.

Black agamba nti amabeere ge gatonnya mu kadde kano nga geetaga kukolako.

Agenda mu maaso n’ategeeza nti talina musajja ate ng’abaana be babiri abato bamwetaaga nga mulamu kale tayinza kutunula nga kokoolo amukwata.

Bad Black yasalirwa ekibonerezo kya myaka ena oluvanyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okubwebwena ensimbi z’eyali muganzi we Green Halgh.

Ono no yateebwaako okugenda okulongoosebwa amabeere kyokka nga yagaana okudda era poliisi yamukwatira mu ggwanga lya Kenya okuddizibwaayo mu kkomera