Amawulire
Amaggye gaawamba poliisi-Alipoota
Bya Mike Sebalu,
Okunoonyereza okupya okwakoleddwa abanoonyereza ku yunivasite y’e Makerere kuzudde nti wabaddewo obuvuyo obweyoleka nti amagye n’emilitale byawamba Poliisi ya Uganda.
Okunonyereza kuno okutuumiddwa militarization and military capture of the Uganda Police Force, kwakolebwa emyezi ebiri emabega mu Kampala n’ebitundu ebimu eby’obuvanjuba bw’Eggwanga.
Okusinziira ku Sylvie Namwase, omusomesa, mu kitongole ky’amateeka, ku Makerere University, yadde nga poliisi eyinza okufuulibwa amagye okutuuka ku kigero ekitono, okusobola okwanukula embeera z’ebyokwerinda ez’akabi ennyo, okunoonyereza kuzudde nti poliisi eyingizibwamu ebyobufuzi.
Agamba nti okuyita mu poliisi eno ey’ebyobufuzi, eggwanga mwe lirabidde okutyoboola kwe eddembe ly’obuntu, songa ne kkooti kati zeyambisibwa okubikirira ebikolwa bya bakuuma ddembe ebitali bituufu.
Bino abyogeredde mu lukungaana olutegekeddwa ekitongole kya Network of Public Interests Lawyers
Mu kwanukula ku alipoota eno omwogezi wa maggye Brg Gen Felix Kulaigye awakanyiza ebigambibwa nti amaggye gawamba poliisi