Amawulire

Amaggye gavumiridde okutulugunya owe Lira

Ali Mivule

June 19th, 2014

No comments

man tortured

Amaggye ga UPDF geganye ebigambibwa it abajaasi baago beetabye mu kutulugunya omuntu wa bulijjo mu disitulikiti ye Lira .

Kigambibwa nti waliwo omusajja atanategerekeka agambibwa okubeera omubbi eyakubiddwa abatuuze n’oluvanyuma nassibibwa ku kiroole ky’amaggye ekyabadde kiddabirizibwa.

Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Paddy Ankunda agamba abatuuze beyambisizza bubi kiroole ky’amaggye naye nga tewali mujaasi yenna yeetabye mu kutulugunya kuno.

Agamba bakukwatagana ne poliisi okunonyereza abakoze kino era bavunanibwe.