Amawulire
Amaggye geesambye Mbabazi
Amaggye g’eggwanga galumbye bannamawulire olw’okugayingizaamu eby’obufuzi
Kiddiridde amawulire agafulumye nga galaga Gen Kale Kaihura, Maj Gen Jim Muhwezi, ne Brig Ronie Barya balabe b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi ate nga yye Brig James Mugira bamwogeddeko nga nfanfe we.
Omwogezi w’amaggye g’eggwanga Lt Col Paddy Ankunda agamba nti bino byakwawula mu maggye
Ankunda agamba nti bakusigala nga bakola ogwaabwe ogw’okukuuma ssemateeka , bannayuganda n’ebintu byaabwe
Mbabazi yasabye awummulemu emirimu gy’obwa ssabawandiisi okutuuka omwaka ogujja