Amawulire
Amaggye geetaaga buyambi
Amagye ga UPDF agali mu ggwanga lya Central gakyetaaga obuyambi.
Okusaba kuno kukoleddwa bana diini abegatira mu kibiina kya Acholi religious peace initiative, oluvanyuma lwabamu ku bali bawambiddwa abayeekera ba LRA okusisinkana abenganda zabwe.
Ssabawandiisi w’ekibiina kino Bishop Baker Ochola agambye nti kikyali kizibu kinene nyo okukuuma abantu, olwobulumbaganyi obukolebwa bayekera mu ggwanga lya Congo ne Central African Republic.
Wabula Bishop Ochola agambye nti amagye ga UPDF gongerwamu amaanyi, galina obusobozi okulwanyisa abayekera bano.
Olunaku lw’egulo abantu 85 abali bawambiddwa Kony,lwebasisinkanye abenganda zabwe mu district ye Gulu.