Amawulire
Amagye ga AMISOM gawambye ebibuga 3
Mu Somalia amagye ga AMISOM gawambye ebibuga bisatu, nga bino bibadde bikajjademu bayeekera ba Al-shabaab.
Akolanga omubaka ow’enjawulo ow’akakiiko ka Africa mu Somalia omukyala Lydia Wanayoto, agambye nti ebibuga ebiwambidwa kuliko ekya Bulo Barer ,Goolweyn ne Jerlio.
Bino okuwambibwa kidiridde ekikwekweto ekya Operation Indian Ocean okutongozebwa gyebuvudeko.
Agavaayo gooleka nga bino ebibuga bwebibade bikolanga oluggi okutuuka mukibuga ekye Baraawe awavva emisolo gya Al- shababa ,songa era muno mwebabade bawandiikira abatuijju abagya.