Amawulire

Amagye ga Uganda gaakusigala mu DR-Congo

Amagye ga Uganda gaakusigala mu DR-Congo

Ivan Ssenabulya

March 17th, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Amagye ga Uganda ssi gaakuva mu gwanga lya Democratic republic of Congo okutuusa nga bamalirizza omuliro ogwabatwalayo.

Gavumenti ya Uganda yasindika abajaasi baayo mu gwanga lino, omwaka oguwedde okulwanyisa abajambula era abayekera ba ADF oluvanyuma lwobulumbaganyi obwomudiringanwa bwebakola mu Kampala.

Kino bangi baakivumirira, nti kyakolebwa wabweru wamateeka kubanga gavumenti teyagoberera mitendera gyeyali etekeddwa.

Bweyabadde ayogera ne bannamwulire, oluvanyuma lwolutuula lwakabondo ka NRM akawungeezi akayise kwebyo ebyatukiddwako, Nampala wa gavumenti mu plamenti Thomas Tayebwa yagambye nti ekigendererwa kyali kyakulwnyisa ba ADF okubamalayo, okusobola okutebenkeza egwanga eryo ne Uganda.

Agambye nti amagye gegwanga aga UPDF bakafiira abajaasi 3 bokka mu bikwekweto bino.