Amawulire

Amalwaliro g’obwannanyini bewozezaako ku bisale bya COVID-19

Amalwaliro g’obwannanyini bewozezaako ku bisale bya COVID-19

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abamalwaliro ag’obwannyini bawabudde gavumenti nti ereete, abasawo ababadde mu kutendekebwa okwongera ku muwendo gwabasawo mu malwaliro, wakati mu kulwanyisa COVID-19.

Okusaba kuno kukoleddwa Grace Kiwanuka, eyakaulembeddemu banne okweyanjula eri akakiiko ka palamenti akatekebwawo okulwanyisa ssenyiga omukambwe.

Kiwanuka yategezezza ababab ababadde bakubirizibwa omubaka we Bugweri Abdul Katuntu waliwo omuwaatwa gwabasawo nga betaaga owkongerako nokubawa ebikozesebwa.

Bano era basabye gavumenti eyongere nbitongole ku mutendera gwensi yonna, okusobola okufuna ebikozesebwa mu malwlairo ku ssente ensassamu era ezisoboka.

Ensisinkano eno yategekeddwa okutema ampenda kungeri yokulwanyisaamu COVID-19 ate n’okumanya lwaki balinyisa ebisale byobujanjabi.

Wabula abamalwaliro agobwannayini bewolerezza, nti bakozesa obukadde 3 nekitundu buli lunnaku okujanjaba COVID-19 muwaada yabayi.

Ebisale bino wabula bagamba nti biva ku bbeyi ye’ddagala eri waggulu, omukka ogwa oxygen, okusasaula abakugu nebirala.