Amawulire
Amasanyalaze gaakusigala nga gaabuseera.
Bya Samuel ssebuliba.
Kikakasiddwa nga bannayuganda bwebagenda okwongera okusasula obuwanana mu masanyalaze, newankubadde amabibiro g’amasanyalaze amalala gaze gagulwawo.
Bino bigidde mukadde nga government etegese okugulawo amabibiro okuli Karuma ne Isimba .
Bwabadde afulumuya Alipoota ekwata ku bungi bw’asanyalaze nabutya bwebukwatagana ne enkulakulana, eyakulidemu okukola alipoota eno eyatuumiddwa Powering Uganda’s transformation, era nga yakulira ekitongole ekya center for development alternative Max Walter agambye nti amasanyalaze ga Uganda abagakozesa bakyali batono, kale nga gyegakoma okweyongera gyegakoma okubeera egebeeyi
Kati ono alabudde bannayuganda nti nga okujjako abakozesa amasanyalaze beyongedde mu Uganda, amasanyalaze sigakukka mu beeyi