Amawulire
Amasanyalaze gasse omwana
Ebadde ntiisa ku kyaalo Buyoga e Kisaaka mu disitulikiti ye Lwengo,omuwala ow’emyaka 13 bw’akubiddwa amasanyalaze negamutta
Zaituni Nassimba nga muyizi mu kibiina ky’omukaaga alinnye ku waya y’amasanyalaze bw’abadde akwata enseneene
Maama w’omwana ono agambye nti omwana ono abebbyeeko n’agenda okukwata ensenene ku kyaalo Kankamba gy’afiiridde
Akulira ekyaalo kino Kato Kidde akungubagidde omwana ono kyokka n’akuutira abazadde bulijjo okumanya abaana baabwe gyebali