Amawulire
Amasomero gaggaddwa
Amasomero agasoba mu 10 aga primary ne secondary geegaggaddwa mu district ye Mukono lwabutatuukagana na mutindo.
Gano gaggaddwa mu kikwekweto ekikulembeddwaamu akulira eby’okulondoola amasomero, Olivia Bulya n’akulira ebyenjigiriza,Margret Nakitto.
Amasomero agaggaddwa tegabadde na butanda bumala mu booda, agatawuula baana balenzi na bawala, agatalina mataala mu bibiina n’agalina omujjuzo.
Mu bikwekweto muno era abakulembeze b’amasomero bayooleddwa era nga n’amasomero agalina abayizi abambala obubi tebagatalizza
Bano nno balina olukalala lwa masomero agasoba mu 100 agagenda okuggalwa.