Amawulire

Amasomero gasubirwa okugulwawo mu wiiki 2

Amasomero gasubirwa okugulwawo mu wiiki 2

Ivan Ssenabulya

August 31st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Gavumenti essubirwa okuggulawo amsomero mu bbanga lya wiiki 2 ezijja, nga baakutandika ne P1 okutuuka ku P3, S1 ne S2.

Ministule yebyenjigiriza nemizannyo egamba nti bano bebagenda okuteeka ku mwanjo, mu ntekateeka esooka.

Kino kyateseddwako olunnaku lweggulo mu lukiiko olwatudde, olwetabiddwamu abakulira ebyenjigiriza, abalondoozi bamasomero ne bannayini bamsomero agaobwananayini.

Okusinziira ku Dr Kedrace Turyagyenda, kamisona akulira ebyomutindo mu minisitule, ebyo byebiina byebagenda okutandika nabyo.

Ono agambye nti waddenga tebanakaanya ku nnaku entuufu, gavumenti eri mu ntekateeka okuggulawo amasomero mu mwezi ogujja ogwomwenda.

Minisitule era egamba nti abayizi baakusomera wiiki 14, babayise okugenda mu bibiina ebirala.

Dr Turyagyenda agambye nti kalenda yebyenjigiriza eya 2021/22 yakubeerawo wakati wa August 2021 ne June 2022 June, oluvanyuma abayizi bakole ebigezo ebyakamalirizo.

Gavumenti etadde ku bbali obuwumbi 48 okugula ebinasomesebwa abayizi, abao abatsomerako ddala omwaka oguwedde.

Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Denis Mugimba ategezezza bannamwulire nti bino bijja kukozesebwa ku bayizi aba P1 okutuuka ku P4, neku bayizi aba S5 ne S6.

Agambye ssente zaamaze okuyisibwa palamenti, nga nabob amaze okufuna abagenda okubakubira material ono.

Mungeri yeemu, waddenga olukiiko lwatudde nebasiinya ku ntekateeka yokuggulawo amasomero mu wiiki 2, waliwo okutya obanga ddala kino kinasoboka.

Okutya kuli ku kasooko, akali mu ntekateeka yokugema abasomesa.

Kinajjukirwa nti gavumenti yalangirira nti tebajja kuggulawo masomero, ssinga abasomesa, abakozi nabayizi abakuze abali mu myaka 18

Eddagala lya Sinovac lyeryatekebwawo okukozesebwa okugema abasomesa, wabula abasing mu disitulikiti ezenjawulo bagamba nti terinatukayo.

Dr Patrick Ebong, nga yakulira ebyobulamu mu disitulikiti ye Amuru, ezimu kwezo ezikoseddwa ennyo ekirwadde kya ssenyiga omukambwe, agambye nti tebanafuna ddagala.