Amawulire

Amasomero g’obwananyini gaggaddewo mangu

Amasomero g’obwananyini gaggaddewo mangu

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Ekibiina ekigatta amasomero gobwanannyini wansi wa Federation of Non–State Educational Institutions in Uganda, banyonyodde ku kyamasomeo okuggalawo amangu.

Amasomero agamu gatandise okuggalawo olusoma wiiki eno, abalala bajja kuggalawo wiika ejja waddenga wakyabulayo nga wiiki 2

Zauja Ndifuna amyuka ssentebbe wekibiina kino, agambye nti embeera yebyenfuna yeyabakozesezza kino, kubanga bwebasaigla nga baguddewo ensimbi nnyingi ezikozesebwa okutambuza emirimu n’okubezaawo abayizi.

Agambye nti ebbeyi yebikozesebwa eri waggulu, kyekyababagudde okukola mangu ebigezo baggalewo.

Olusoma lubadde lusubirwa okuggalwawo mu butongole nga 15 April owaka guno 2022.

Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Dr Dennis Mugimba bwatukiriddwa, mpaawo kyeyanukudde ku nsonga eno.