Amawulire

Amataba gasse 2 wano mu Kampala

Ali Mivule

November 21st, 2014

No comments

 

floods in Bwaise

Enkuba ekedde okutonnya amakya galeero erese abantu 2 bafu.

Bano bagudde mu myala egibooze oluvanyuma lw’enkuba okutonya nga engobe mu ggulu.

Abafudde kuliko  ategerekese nga Nakato omutuuze we Nabweru ssaako n’omulala ow’emyaka 15 naye ategerekeseko erya Faizal nga ono yye mutuuze wa Kyebando Central Zone.

Aduumira poliisi ye Kawempe Patrick Alinyo ategezezza nga omulambo gwa Nakato bwegutanazulibwa wabula nga bagusuubira okubeera mu mwala gwa Lubigi.

abatuuze mu bitundu bino basabye KCCA ebayambe ku myala egibooga mu budde bw’enkuba.