Amawulire

Amateeka gakolebwemu ennongosereza kulwókutaasa abaana

Amateeka gakolebwemu ennongosereza kulwókutaasa abaana

Ivan Ssenabulya

November 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Abalwanirizi b’eddembe lya bakozi basabye wabeewo enkolagana mu mateeka kiyambeko okulwanyisa ekizibu kyokutika abaana emirimu emikakali

Bano okuvaayo bwebati ngekizibu kino kyongedwamu amaanyi embeera eyomuggalo ku masomero eyavirako abaana okutandika okwenyigira mu byemirimu basobole okubaawo.

Bwabadde ayogerera mu lukungana lwa babaka ba palamenti okutema empenda ku butya bwebayinza okukwasaganya amateeka ku byokukozesa abaana bato nobutafiibwako mu byensoma, omukwanaganya wemirmu gye kibiina ki International Labor Organisation, Jacqueline Banya agambye nti newankubadde ngeggwanga lirina amateeka ne nkola ku kyokukozesa abaana abato waliwo ebikyalumira.

Anokodeyo etteka lya employment act ne lya education act gagamba nti galina okuterezebwa ne kigendererwa ekyokukuuma abaana okuva eri emirimu emikakali nokweyambisibwa.